Amawulire

Poliisi ekutte omuvubuka abadde atwalira Sipiika Kadaga omutwe gwómuntu ngékirabo

Poliisi ekutte omuvubuka abadde atwalira Sipiika Kadaga omutwe gwómuntu ngékirabo

Ivan Ssenabulya

September 14th, 2020

No comments

Bya Juliet Nalwoga,

Agambibwa okuleeta omutwe gwómwana ngékirabo eri omukubiriza wólukiiko lw’eggwanga olukulu, Rebecca Kadaga, ku palamenti enkya ya leero agombedwamu obwala

okusinzira ku mwogezi wékitongole kya CID, Charles Twine, agamba nti omukwate ye Joseph Nuwashaba , nga atemera mu gyobukulu 22, nga mutuuze wé  Kizinda, Bushenyi district.

omutwe gwomwana gwazze akaalakaala nagwo gwamwana atemera mu gyóbukulu 5- 8 era azze omutwe agusabize ngékirabo, aguwe Kadaga.

wabula poliisi yé  Masaka nayo yafunye dda omusango ku kiwuduwudu kyomwana ekisangibwa e  Kijabweni.

kati poliisi etandise okwetegereza ebitundu byombi okulaba oba byawamu