Amawulire

Poliisi ekutte omukazi eyasse baabwe

Poliisi ekutte omukazi eyasse baabwe

Ivan Ssenabulya

April 15th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Omukazi nakampaate, akakanye ku baawe namutemako omutwe naleka abatuuze mu ntiisa.

Bino bibadde ku kyalo Bulangira mu disitulikiti ye Kamuli, southern Division eya munisipaali eno.

Ssentebbe we kyalo Ali Mitango, agambye nti omutwe gwomugenzi gusangiddwa ku mabbali gomulambo gwe, mu diiro munda mu nnymba.

Omugenzi ategeregese nga ye Binoga ngabadde musomesa mu kitundu

Abafumbo bano kitegezeddwa nti babadde nenkayana okumala ebbanga.

Kati poliisi ekutte omukazi, abayambeko mu kunonyereza okutandise.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *