Amawulire

Poliisi ekutte eyasobezza kuwemyaka 100

Poliisi ekutte eyasobezza kuwemyaka 100

Ivan Ssenabulya

October 16th, 2020

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi e Iganga egalidde omusajja owemyaka 25, ku misango gyokusobya ku namukadde owemyaka 100.

Omukwate mutuuze ku kyalo Nabiri mu gombolola ye Kidago e Iganga, nga kigambibwa nti yayingide mu nnyumba yomukadde namwekakatikako.

Omuddumizi wa poliisi e Iganga David Willis Ndaula akakasizza bino, wabula nanenya nnyo abatuuze olwokulwawo okuloopa ku poliisi nga bazze wayise ennaku 2.

Omukwate kitegezeddwa nti alina abakazi babiri ku kyalo.