Amawulire

Poliisi ekutte eyasadaaka ow’emyaka 10

Poliisi ekutte eyasadaaka ow’emyaka 10

Ivan Ssenabulya

September 24th, 2019

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Poliisi e Masaka eriko omusajja owemyaka 21 gwegalidde nga kigambibwa nti yawamba omulenzi owemyaka 10 noluvanyuma namutta.

Omukwate ye Justus Niwabyona nga mutuuze ku kyalo Kibimba mu kabuga ke Kyazanga mu district ye Lwengo.

Omwogezi wa poliisi mu district ezikola obwagagavu bwe Masaka Paul Kangave agambye nti omukwate yatta Deus Nyebaza bwezaali ennazku z’omwezi 29 August omwaka guno.

Poliisi egamba nti ono yasooka kusuulira bazadde bomwana ono ebibaluwa ngabalaliika, okukola obulabe ku mwana waabwe.

Kati Kangave agambye nti mu nnyumba yomukwate basanze ebintu bye bijudde omusaayi, era nakiriza nti ba Katonda be babadde bamusaba omusaayi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *