Amawulire

Poliisi ekutte basajja baayo 2 lwakutta muntu

Poliisi ekutte basajja baayo 2 lwakutta muntu

Ivan Ssenabulya

June 29th, 2020

No comments

Bya Juliet Nalwoga, Poliisi mu disitulikiti yé Mpigi, mu gombolola yé Kamengo eriko basajja baayo 2 beggalidde lwakukuba masisi agasse omuntu gwe babadde bagenze okukwata

Lydia Tumushabe ayogerera poliisi mu kitundu ekyé Katonga atubuulidde nti abakwate kuliko, Herman Kinobe ne Eliya Luwalira ababadde bakedde mu maka ga Paul Mukasa okumukwata olwokubayisamu amaaso

Wabula olutuuse ate abafamileye ne bavaayo ne miggo nobukumbi mbu okukuba abasirikale bano ekibagye mu mbeera ne batandika okukuba masasi mu bbanga okuli erikutte Mukasa

Omulambo gwe gutwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e mulago okwongera okwekebejebwa nga nokunonyereza bwekugenda mu maaso