Amawulire

Poliisi ekutte agambibwa okusobya ku bawala 6

Poliisi ekutte agambibwa okusobya ku bawala 6

Ivan Ssenabulya

May 4th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Poliisi mu bitundu bye Nansana eriko omusajja ategerekese nga Moses Aldo Mpanga aka Kakooza Moses gwetadeko obunyogoga ku bigambibwa nti yasobeza ku baana 6 abali wansi wemyaka 15.

Okusinzira kwamyuka omwogezi wa poliisi mu kampala ne miriraano, Luke Owoyesigire bafunye sitetimenti okuva mu bazadde nábaana abasobezebwako era ne kizuulibwa nti omusango yaguza wakati wa 2019-2020.

Kigambibwa nti omusango yaguza akyali musomesa kusomero erya step by step primary school e Nansana.

Omukwate bwatuuse ku poliisi agaanye okubaako kyayogera era kati akuumibwa mu kadukulu nga okunonyereza bwekugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *