Amawulire

Poliisi ekutte abatta owa Boda boda ku camera

Poliisi ekutte abatta owa Boda boda ku camera

Ivan Ssenabulya

July 17th, 2019

No comments

Bya Rith Kemigisa

Poliisi etegezezza nga bwekutte omusajja eyali emabega wobutemu obwakolebwa kuwa boda boda obwalabikira ku camera CCTV, akatambi akasasaana ennyo ku mitimbagano gya yintaneti.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Patrick Onyango agambye nti omukwate ye John Bosco Mugisha amanyiddw aennyo nga Mukiga.

Agambye nti baamukutte okuva mu Nsiike 1 ekisangibwa mu division ye Rubaga mu Kampala oluvanyuma lwokutemezebwako. Nti eno gyabadde yekukumye.

Onyango agambye nti omukwate yakirzza nti ddala yeyali mu katmbi ako, ne munne ategerekeeso erya Young Mulo, nga yye yattibwa abatuuze e Makindye bwebamutebereeza okubeera mu bubbi bw apikipiki obwo.

Omukwate kati akuamibwa ku poliisi ya Old Kampala ngagenda akuggulwako emisango gyokukuba obwa kkondo n’obutemu okunonyereza bwekunaaba kuwedde.

Bano poliisi egamba nti bebatta Derrick Mulindwa omutuuze we Nabweru, mu munispaali ye Nansana.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *