Amawulire

Poliisi ekutte 60 ababadde batigomya bannakampala mu kiro

Poliisi ekutte 60 ababadde batigomya bannakampala mu kiro

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Poliisi ya Kampala mukadde eriko abantu 60 betadde emabega wémitayimbwa ku bigambibwa nti bano basangibwa ne bintu bya maggye ga updf kko ne bintu ebibbe.

Okusinzira kwamyuka omwogezi wa poliisi mu bitundu bya kampala ne miriraano, Luke Owoyesigyire, babiri ku bakwate basangibwa ne kyambalo kya UPDF ne ssasi.

Ate abalala basangibwa ne bissi okuli amajambiya, enyondo ne birala bye babadde bakozesa okutigomya bannakampla mu budde obwekiro.

Owoyesigire agamba nti bano babazudde mu kikwekweto ekyakoledwa leero nga busasaana mu kampala oluvanyuma lwa batuuze okwemulugunya ku bubbi obususe.