Amawulire

Poliisi ekutte 2 ku byokubba nambapuleeti

Poliisi ekutte 2 ku byokubba nambapuleeti

Ivan Ssenabulya

July 14th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi ye Lubowa, ku nkingizi za Kampala baliko abantu 2 bebakutte mu bubbi bwa namba puleti ye’mmotoka.

Bano kigambibwa nti bebabadde batigomya abantu mu bitundu bye Lubowa, Zzana, Bunamwaya, Katale, Bukwenda, Seguku ne Nalumunye.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirwano Luke Owoyesigyure agambye nti bakoze ekikwekweto mwebabakwatidde oluvanyuma lwokwemulugunya okubadde kweyongedde mu bantu.

Bebatimbululiddeko namba puleeti ku mmotoka ne pikipiki, babaddenga babakubira amasimu nga babasaba ssente nti bazisindike ku mobile money.

Owoyesigyure agambye nti baalondodde abasajja bano nebabakwatira e Seguku ne Namasuba, nga babasanze ne namba puleeti 46.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *