Amawulire

Poliisi ekute 7 abawaga abayizi e Makerere okwediima

Poliisi ekute 7 abawaga abayizi e Makerere okwediima

Ivan Ssenabulya

October 28th, 2019

No comments

Bya Juliet Nalwoga ne Damali Mukhaye, Police eriko abantu beelumirizza okukulemberamu okwekalakaasa kw’abayizi ku ssetendekeero e Makeerere .

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya poliisi mu masekati ga Kampala, ssekamwawa poliisi Fred Enanga, ategezezza nga bwe balina amawulire gonna ku basa ensimbi mu kwediima kw’abayizi kuno .

Enanga ategezezza ng’abantu 7 abatali bayizi abakwatidwa amaggye ssabiiti ewedde nga basangibwa mu bisulo by’abayizi okuli Lumumba, ne  Mitchel.

Bano kuliko Lumala Deo omusuubuzi ku luguudo lwa Nasser, Otim Derrick, George Kalisa, Fahad Senyonjo, Ken Torry Kalangila, David Biriyo kwosa neJethro Okiror.

Enanga ategezezza nga bwebazudde owa mobayiro mane  mu bitundu bye wandegeya gye bagambibwa okuba nga babadde bafuna ssente okuwagira obwegugungo buno nga si kuttendekero lya Makerere lyokka wabula ne university endala okuli ne kyambogo.

Mungeri yemu abadukanya Ssettendekero wa Makerere bagamba nti okwekalakaasa okugenda mu maaso kukumidwamu omuliro abayizi abegwanyiza ebifo ebyenjawulo mu kulonda kwabakulira abayizi okujja.

Akolanga omumyuka wa kyansala Prof Umar Kakumba ategezeza bannamawulire nti ebitundu 15% ebyenyongeza ku bisale bisasulwa bayizi bayingira ttendekero bokka abali mu mwaka ogusooka.

Ono ayongedeko nti mu ssabiiti ewedde abayizi ebitundu 85% babadde bamaze okusasula ensimbi zinob era nga tebakirinamu buzibu kuziwa.

Kakumba asabye abayizi okukakana bave mu byokwekalakaasa