Amawulire

Poliisi ekugidde abasiraamu

Ali Mivule

July 17th, 2013

No comments

mosque

Police erinye eggere mu nteekateka z’ekabinja ky’abasiramu b’omuzikiti gwa  SPIDIKA wali mu kisenyi ababadde beesomye okulumba omugagga  Bosco Muwonge eyagula ettaka okuli omuzikiti gwaabwe.

Abaddu ba Allah bano, Muwonge bamulanga kwekobana n’abamu kubakulembeze baabwe n’agula ettaka lino obuwumbi bubiri nekitundu.

Police ng’ekulembeddwamu aduumira police yo ku old Kampala Moses Gobola balabukiridde abayisiramu ababadde batuuse ku offiisa ya Muwonge wali ku kisenyi bus Terminal nebabalemesa .

Wabula abayisiramu baweze nga bwebagenda okusitula buto balumbe muwonge oluvanyuma lw;esswala ya Juma olw’okutano luno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *