Amawulire

Poliisi ekubye omukka mu basoma obusawo

Poliisi ekubye omukka mu basoma obusawo

Ivan Ssenabulya

September 30th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu bayizi abasoma obusawo, abe Mulago ababadde basimbye kasooli okwolekera ku palamenti okutuusa okwemulugunya kwabwe ewa sipiika wa palamenti.

Bano wansi wekibiina ekibagatta ekya Federation of Uganda Medical interns, babadde bakakatanye nebipande okuli okwemulugunya kwabwe.

Babadde bakulembeddwamu Ssekyanzi Henry, wabula olutuuse ku ddwaliro lye Nakasero poliisi nebagwamu nebabuna emiwabo, bwebakubyemu omukka aogubalagala.

Ebimu ku byebemulugunyako ye ministry yebyobulamu eyagaana, okugondera ebiragiro bya kooti okubongera emirimu bakolenga bagendanga mu kugezesebwa emirundi 4, mu kifo kyemirundi 2.

Bano era bemulugumnya neku nsao ebaweebw agyebagamba nti ntono.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *