Amawulire

Poliisi ejeeyo omulambo gwomuntu mu kirombe e Kasese

Poliisi ejeeyo omulambo gwomuntu mu kirombe e Kasese

Ivan Ssenabulya

July 6th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu disitulikiti ye Kasese basobodde okujjayo omulambo gwomuvubuka owemyaka 21, eyabutukirwa ettaka mu kirombe kya zzaabu ku lunnaku Lwokutaano.

Enjega eno yagwa ku kyalo Kanghobe 11 mu gombolola ye Kisinga e Kasese.

Akulira ebyokunonyereza mu kitundu kya Rwenzori East Nelson Tumusiime agambye nti bantu 6 awamu bebabutikirwa ettaka, wabula 5 nebasimattuka.

Omugenzi ye Joel Mbusa ngono yalemererwa okwetaasa era nafiira mu njega eno.

Poliisi kijitwalidde ebbanga, nga balinze ettaka eribadde likyabumbulukuka lirekere awo, batandike ku ntekateeka yokujjayo omulambo.

Okusinziira ku batuuze, kitegezedwa nti ekirombe kino kya Ernest Masereka ngono wetwogerera alaiira ku nsiko.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *