Amawulire

Poliisi egalidde bannamukadde ababadde basobya ku mwana

Poliisi egalidde bannamukadde ababadde basobya ku mwana

Ivan Ssenabulya

July 20th, 2019

No comments

Mbogo Sadat, Poliisi mu disitulikiti ey’e Mpigi ekutte neggalira bannamukadde babiri ku bigambibwa nti benyigidde mu kukabasanya akawala ka myaka munaana gyokka egy’obukulu.

Abakwate batuuze ku kyalo Buzungu-Kabuta mu ggombolola y’e Kammengo era bano be ba; Mzee Mandaazi, 75 ne Mzee Mazolo, 67.

Kigambibwa akawala kano kabeera ne maama waako omuto naye nga takafaako, nga kyandiba nga kino kyekibadde kiwa omukisa abazeeyi bano bamulirwana b’amaka akawala mwekabeera okukakozesanga.

Taata waako ategeerekese erya Kikoyo yatemezeddwako bamulirwana era n’asanga nga omuzeei omu ali ku muwalawe amulya ebisobooza

Abakwate mu kaseera kano bakuumibwa mu kaduukulu ka police e Kamengo nga okubanonyerezaako bwe kugenda mu maaso