Amawulire

Poliisi egaanye okujja emisango ku balwanyisa enguzi abakwatiddwa

rmuyimba

February 5th, 2013

No comments

Poliisi esimbye nakakongo n’egaana okujja emisango ku balwanyisa enguzi abakwatiddwa olunaku lwajjo.

Bano ababadde batambulira mu kisinde kya balaza enzirugavu bakwatiddwa olunaku lwajjo nebaggulwaako emisnago egyekuusa ku kukuma mu bantu omuliro.

Olwaleero poliisi esisisinkanye abantu bano kyokka n’egaana ebyokubajjako emisango.

Amyuka akulira poliisi, Martin Ochola agamba nti bano okujjibwaako omusango kilina kusalibwaawo ssabawaabi wa gavumenti

Kyokka poliisi ebakkiriza okugenda mu maaso ne kawefube waabwe kavuna batamussaamu byabufuzi.