Amawulire

Poliisi e Mukono eyodde abatambula mu budde bwa kafyu

Poliisi e Mukono eyodde abatambula mu budde bwa kafyu

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi e Lugazi ekutte abantu 71 abasangiddwa mu mabaala nga banywa, ekintu ekikontana nebiragiro byomukulembeze we’gwanga.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Hellen Butoto agambye nti ekikwekweto kino kyatwaliddwa mu mabaala nemuzi loogi, wabula basanze abantu bajudde.

Ku baakwatiddwa, mubaddemu nabakazi.

Wabula waliwo abasirikale 2 ababuuse nebisago, oluvanyuma lwabantu bebabadde bakwata okulwanagana, nga bakubiddwa amayinja.

Abasirikale bano kati bawereddwa ebitanda mu ddwaliro lye Kawolo okufuna obujanjabi.

Ate ab’oluganda lwabantu abakwatiddwa mu kafyu bakukulumidde poliisi ye Mukono, nga balabudde nti bwebatabayimbule bolekedde okuddukira mu kooti.

Poliisi e Mukono yakoze ekikwekweto olunnaku lweggulo, okuva ku ssaawa 1 nekitundu nekwata abasangiddwa nga batambula mu budde bwa kafyu, awatabadde kutaliza.

Nanteze Mariam agambye nti muwala we bamukute, bweyabadde amutumye ku dduuka okugula amata.

Ssentebbe we’kyalo Lweza, Joackim Ssendi naye yalabiddwako ngankonkomalidde ku poliisi olwabantu be abakwatiddwa.

Bano bagamba nti poliisi esusizza obukambwe.

Wabula amyuka omubaka wa gavumenti e Mukono, Richard Bwabye alayidde nti ebikwekweto bino byakugenda mu maaso, kubanga abantu babadde bazeemu okulagajjala obutagonberera biragiro byamukulembeze wa’gwanga.