Amawulire

Poliisi e Mubende ekutte Ndooli Museveni lwa kukuba lukungana

Poliisi e Mubende ekutte Ndooli Museveni lwa kukuba lukungana

Ivan Ssenabulya

September 14th, 2020

No comments

Bya Magembe Ssabiiti,

Poliisi e Mubende ekute Ndooli William Museveni eyavuganya ku kifo ky’omubaka wa palamenti owa Buweekula South mu kamyufu ka NRM nawangulwa nagulwako emisango omuli okuba olukungaana olumenya amateeka n’okungaana mu bungi ekyali kiyinza okuvirako okusasaana kwe kirwadde kya Covid-19.

Ndooli William Museveni nabantu abalala 23 baleteddwa maaso g’omulamuzi weddala elisooka e Mubende Adam Byalugaba nabasomera omusango gw’okuba olukungana olumenya amateeka ekyali kiyinza okuvirako okusasaana kwe kirwadde kya Covid 19 bwezali nga 10/ omwezi guno mu tawn ya Kyenda wabula Ndooli omusango agweganye kyoka abantu  23  bavunanibwa nabo bakiriza omusango guno.

Munamateeka wa Ndooli Manzi Andrew asabye omulamuzi akirize omuntu we yeyimirirwe ekintu omulamuzi Adam Byalugaba kyakiriza .

Ndooli eky’okumukwata nagulwako emisango akitadde kwabo beyavuganya nabo mu kalulu kano.