Amawulire

Poliisi e Lira ekutte 3 ababadde basobya ku mukazi

Poliisi e Lira ekutte 3 ababadde basobya ku mukazi

Ivan Ssenabulya

May 20th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Polisi mu kibuga e Lira batandise okunonyereza kungeri abasajja abalabiddwa ku camera z’okunguudo, gyebabadde bagenda okukakana ku mukazi owemyaka 19 okumusobyako.

Poliisi mu kitundu kino abaku kitebbe, abalondoola camera zonna mu gwanga bebabaglizaako.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya North Kyoga, Jimmy Patrick Okema agambye nti bino byabaddewo olunnaku lweggulo, okumpi ne Golf Course e Lira era poliisi yasobodde abasajja bano bonna okubakwata.

Abakwate wetwogerera nga bakumibwa ku CPC e Lira, ngokunonyereza kugenda mu maasp.

poliisi egamba nti bagend kuvunanibwa omusango gwokugezaako okusobya ku mukazi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *