Amawulire

Poliisi e Bundibugyo ekutte abantu 18 lwakujemera biragiro bya pulezidenti

Poliisi e Bundibugyo ekutte abantu 18 lwakujemera biragiro bya pulezidenti

Ivan Ssenabulya

June 28th, 2020

No comments

Bya Juliet Nalwoga, Poliisi e Bundibugyo eriko abantu 18 betadeko obunyogoga lwakusangibwa mu bbaala nga benyweera nokukuba matatu.

Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bye Rwenzori, Vincent Twesigye, bano basangibwa mu bbaala ya vision mu Nyahuka town council e Bundibugyo nga bakuba matatu nokunywa omwenge nga berabidde nti ne kirwadde kya covid gyekiri.

Twesigye atubuulidde nti bano bakugulwako omusango ogw’okulagajalira obulamu bwabwe mu ngeri eyinza okubasinga ekirwadde.

Mungeri yemu wano mu Kampala poliisi eyodde abagoba ba bodaboda na basabaze abasoba mu 100 lwakujemera biragiro bya mukulembeze weggwanga

Omwogezi wa poliisi mu Kampala ne mirirano Patrick Onyango agambye nti ne bano bakuvunanibwa emisango egy’kujemera ebiragiro bya pulezidenti.