Amawulire

Poliiisi elabudde abantu baayo ku byobufuzi

Poliiisi elabudde abantu baayo ku byobufuzi

Ali Mivule

October 28th, 2015

No comments

File Photo: Ababoda boda mu kampeyini

File Photo: Ababoda boda mu kampeyini

Poliisi akangudde eddoboozi ku ba ofiisa baayo abeerabidde emirimu gyaabwe nebadda mu byobufuzi.

Kiddiridde okukwatibwa bw’omu poliisi amanyiddwa nga Moris Latigo ng’alonda mu kamyufu ka NRM e Gulu ate nga e Lwengo, yye Micheal Mbirimu yetabye ku bakwatiddwa n’obululu obubbe.

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agambye nti kikyaamu omupoliisi okubeera n’oludda bwegutuuka ku bibiina era abakikola balina okukikomya.

Alabudde nti oyo yenna anasangibwa ng’ali mu byobufuzi ebyawula mu bantu kakumujjutuuka.