Amawulire

Police enakuwalidde eby’okukwata abantu mu bukambwe.

Police enakuwalidde eby’okukwata abantu mu bukambwe.

Ivan Ssenabulya

October 19th, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba.

Police  enakuwalidde enkola eyabakuuma dembe ey’okukwata abateberezebwa okuzza emisango mungeri ey’obukambwe era esambirira edembe lyabwe ely’obuntu.

Bino bigidde mukadde nga police enonyereza ku katambi akaalabikidde ku TV nga kalaga abaserikale nga bakwata omusajja wano mu Kampala mu bukambwe obwekitalo.

Twogedeko nakulira Interpol Fred Yiga naagamba nti okukwata kwabateberezebwa bonna okuzza emisango kulina okugoberera amateeka, nga kwogase n’okuteeka ekitiibwa mu Muntu aba akwatibwa.

Kati ono agamba nti abakola kino balina okwedako naddala nga bagoberera amateeka agaayisibwa ssabapolice we gwanga Martin okoth ochola ku ngeri y’okukwatamu abazzi b’emisango.