Amawulire

Pikpiki zonna zakuwandiisibwa- Aba Boda balwanye

Ali Mivule

August 26th, 2013

No comments

bodabodas

Kampala capital city authority efulumizza enteekateeka namutayiika mw’egenda okuyita okuwandiisa piki piki mu kampala.

Piki ezigenda okuwandiisibwa zeezikola bodaboda n’ezo ez’obw annayini

Omulimu gwakutandika nga 19 okutuuka nga 22 ate nga bbo abalian ezitakola boda bawkongerwa wiiki okuziwandiisa

Akulira abakozi mu kampala, Jennifer Musisi agamba nti abagoba ba bodabobda bonna bagenda kuweebwa enamba ezigenda okuwandiikibwa ku bikabuuti byaabwe ne ku bikoofira

Musisi ayanguye okusangulawo ebiyinz aokutandika okwogerwa nti bayigga musolo ng’agamba nti buli kimu kigendereddwaamu kutegeka kibuga

Piki zonna ezinawandiisibwa zakuweebwa siteegi n’oluvanyuma banyizo basasule omusolo mu banka ya Centenary

Ng’ayogerera mu lukungaana lw abannamawulire lwelumu, akulira aba bodaboda mu kampala, Twaha Kagimu ayaanirizza ekikolwa kino kyokka n’akuutira KCCA okuyita mu bibiina byaabwe okulaba nti tewali alekebwa mabega oba okutataganya ebintu