Amawulire

Peter Mugema akakasidwa nga omubaka omutuufu owa munisipali ye iganga

Ivan Ssenabulya

March 22nd, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Abalamuzi basatu abatuula mu kooti ejulirirwamu basatu   nga bakulirwa eyali amyuka ssabalamuzi , nga ono ye mulamuzi  Steven Kavuma basazewo nti Peter Mugema  Panadol  y’emubaka omutuufu owa Iganga Municipality, nga bano basazizaamu  okusalawo okwa kooti ye Jinja eyali erangiridde Mudyobole Abdul Nasser nga omuwanguzi.

Bano mukusalawo kwabwe bagambye nti  ensonga ezesigamwaako omulamuzi Margaret Mutoni nga awa ensalaye temwali mulamwa, kale nga Panadol ye mubaka omutuufu.

Kinajukirwa nti kyali kigambibwa nti Panadol aliko abantu beyawa ensimbi emitwalo 300,000 nga enguzi, kyoka bino abalamuzi babiwakanyizza.