Amawulire

Patrick Amuriat Oboi agamba baatabagana ne Gen Muntu

Ivan Ssenabulya

March 19th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Presidenti wekibiina kya FDC Patrick Amuriat Oboi agamba nti yenyimiriza kubanga asobodde okugonjoola obutakanya wakati wa banakibiina, beyavuganya nabo mu lwokaano lwobwa presidenti.

Bwabadde afulumya alipoota eyebyo ebikoleddwa mu bbnag lye eryemyaka 100 mu wofiisi, Amuriat ategezeza nti basisinkanye ne Gen Mugisha Muntu eyali presidenti wekibiina, era nebakanya okukolera awamu.

Wabula bwabuziddwa lwaki Gen Muntu akyagenda mu maaso nentekateeka ze nga yebuuza ku bantu okwetoola egwanga, ezitawagirwa kibiina, Oboi agambye nti bakanya naye bakyamuwa akadde alabika agezaako kuwona ebiwundu byeyalina.

Mungeri yeemu Patrick Amuriat Oboi ategezeza nti ebimu ku bitukiddwako kwekuba nti bayingizza ba member abappya mu kibiiba.

Agambye nti abamu ku bagundiivu, abegasse ku FDC mu kabanga akayise ye musomesa we Makerere era omulwanirizi we ddembe Dr. Stellah Nyanzi, eyali omubaka wa Rwampala Vincent Kyamadidi neyali mayor we Lugazi John Bosco Aseya nabalala.

Ategezeza nti caada zekibiina emitwalo 50 zezitundiddwa ku bitebbe byekibiina ebyenjawulo.

Omukolo guno gubadde ku kitebbe kyekibiina e Najjanankumbi nga gwetabiddwako banakibiina Joyce Nabbosa Ssebugwawo, Dan Malcom Matsiko eyavuganya kubwa presidenti bwekibiina, Ingrid Turinawe ne presidenti wabayizi omugya ku ttendekero e Kyambogo German Amanya nowe Makerere Papa Were Salim.