Amawulire

Palamenti eyisizza ebbago lya yinsuwa eyeby’obulamu

Palamenti eyisizza ebbago lya yinsuwa eyeby’obulamu

Ivan Ssenabulya

April 1st, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Palamenti eyisizza ebbago lya yinsuwa eyobulwamu erya National Health Insurance Scheme Bill 2019 bweryabadde lireteddwa okulisoma omulundi.

Ebbago lino lyayisiddwa wakati mu kuwakanyizibwa.

Minisita owa guno na guli mu minisitule yebyobulamu Robinah Nabbanja, yabadde ataddeyo okusaba eri palamenti okujjayo ebbago lino era nga bwekyabadde kusubirwa, wabula palamenti nekigaana.

Ono bamunenyezezza okulemererwa okuwolereza ebbago ate okwagala okubazza emabega, songa babadde batutte obudde bungi mu kuteesa ku bbago lino.

Ssentebbe wakakiiko kebyobulamu mu palamenti Michael Bukenya yasomye ebbago lino omulundi ogwokubiri nga kyakanyizddwako nti kya buwaze eri buli muntu okubeera memba mu schem ya yinsuwa.

Entekateeka eno egendereddwamu okutondawo ensawo ya ssente okujanjaba abantu ku bwerere, okuyamba nabatesobola naddala abakadde nabavubuka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *