Amawulire

Palamenti evuddeyo kubya Nzikuru

Palamenti evuddeyo kubya Nzikuru

Ivan Ssenabulya

April 23rd, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Gavumenti esabiddwa okutukiriza obweyamu bweyakola, eri omuddusi we’gwanga Dorcus Inzikuru

Okusaba kuno kukoleddwa omubaka we Ayivu Bernard Atiku ngagambye nti Nzikuru oluvanyuma lwokuwangula omudaali gwa zaabu mu mpaka zabakyala 3000m mu mwaka gwa 2005, omukulembeze we’gwanga yamusubiza emmotoka, wabula etamuwebwanga negyebuli kati.

Bino webijidde nga waliwo nendoliito ku nnyumba eyamuweebwa, ngekirabo okuva mu gavumenti.

Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga, alagidde minisita webye ttaka Betty Kamya, okugenda alambule Nzikuru mu Arua, oluvanyuma akomyewo alipoota entuufu eri palamenti ku mbeera Nzikuru gyalimu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *