Amawulire

Palamenti eragidde Odongo anyonyole ku by’okuliyirira abafiirwa abaabwe

Palamenti eragidde Odongo anyonyole ku by’okuliyirira abafiirwa abaabwe

Ivan Ssenabulya

April 28th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Minisita owensonga z’omunda mu gwanga Gen. Jeje Odongo alagiddwa palamenti, a;leete alipoota enyonyola kungeri gavumenti bwegenda okuyamba nokuliyirirra abantu abakosebwa mu bwegugungo, bwa Novemba 18 ne 19 omwaka oguwedde.

Omukulembeze we’gwanga yasubiza nti gavumenti yakuliyirirra famile zabantu abafiirwa abaabwe, wabula nga batibwa mu butanwa nga baali tebekalakaasa.

Palamenti okuvaayo okulagira kyadirirdde okwemulugunya okwaleteddwa omubaka we Kajara, Micheal Timuzigu nga yagambye nti mu itundu kye mulimu omusajja yafiirwa mutabani we, eyali yakattikirwa ngamaze emisomo gye atenga yali yakafuna nomulimu.

Yategezezza nti omwana ono yatibwa wabulanga yali teyekalakaasa, era nasaba sipiika Rebecca Kadaga, nti palamenti ebereko engeri gyekaka gavumenti okuliwa eri abantu bano.

Obwegugungo buno bwaliwo abantu bwebaali bawakanya okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi-Wine mu biseera byokunoonya akalulu.

Kati Odongo atekeddwa okwanjula alipoota eno wiiki ewedde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *