Amawulire

Palamenti eragidde gavumenti okutondawo akakiiko k’ebibamba

Palamenti eragidde gavumenti okutondawo akakiiko k’ebibamba

Ivan Ssenabulya

April 9th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Palamenti eyisizza ekiteeso, mwebalagidde gavumenti okutaondawo akakiiko akenjeaulo akanakolanga ku bigwa tebiraze, aka Disaster Preparedness and Management Commission.

Ekiteeso kino kireteddwa, omubaka omukyala owa distulikiti ye Mpigi Sarah Nakawunde.

Ennyingo eye 249 mu ssemateeka we gwanga owa 1995 eragira okutondebwawo kwakakiiko kano, okukwasaganya emirimu gy’okudukiriranga abantu abagaudde ku bibamba mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo.

Nakawunde agambye nti mu mwaka gwa 2011, minisitule eyebibamba nebigwa tebiraze, yagunjaawo enkola gyebatuuma National Policy for disaster preparedness and management okukolanga ku bwerinde, mu mbeera eno naye tekoze nga bwekyasubirwa.

Omubaka wa Rubaga North, Moses Kasibante agambye nti obwetaavu webuli mu gwanga, okugunjaawo okufuna abakugu mu ntekateeka zobuddukirize.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *