Amawulire

Palamenti enonyereza ku by’okuzza abanyarwanda ku butaka.

Palamenti enonyereza ku by’okuzza abanyarwanda ku butaka.

Ivan Ssenabulya

September 12th, 2018

No comments

Bya Moses Kyeyune.

Parliament etadde government ku ninga enyonyole kubigambibwa nti waliwo kawefube agenda mu maaso ow’okukwata banansi ba Rwanda n’okubazza ku butaka mungeri emenya amateeka.

Bino okuvaayo kidiriidde omubaka w’abavubuka Anna Adeke okutegeeza parliament nti afunye okwemulugunya nti waliwo banansi ba Rwanda abakwatibwa nebazibwa ku butaka mu kimpukumpuku.

Kati ono agamba nti ekigenda mu maaso kituuse okukosa nebannayuganda abakolera mu Rwanda, songa amawanga gonna gaggwa mu luse lw’omukago ogwa East Africa

Kati speaker alagidde government okuleeta okunyonyola okumala olunaku olw’enkya.