Amawulire

Palamenti enenyezedwa ku kissaddaaka abaana

Palamenti enenyezedwa ku kissaddaaka abaana

Ivan Ssenabulya

September 16th, 2020

No comments

Bya Ndaye Moses,

Bannakyewa bagamba nti ebikolwa ebyókussaddaaka abaana okweyongera kivudde ku palamenti obutafaayo kuyisa ebbago lyétteeka erikugira omuzze guno erya prevention and prohibition of human sacrifice and harmful bill 2020.

Ebbago lino ligenderera kwawula musango gwa kusaddaka ku butemu nókuwa ekibonerezo kyókufa eri eyo akikoze.

Bannakyewa okuli World vision naba Children on the Edge Africa bagamba nti ekyóbutabaawo tteeka libonereza muzze guno kivirideko abasaddaka abaana okufuna amaanyi.

Akwasaganya ensonga zábaana okuva mu World vision Obed Byamugisha, anenyeza palamenti olwókulwawo okuyisa ebbago lino

Bano okuvaayo bwebati kidiridde omuvubuka okukwatibwa ku palamenti yeggwanga nga akaalakaala nómutwe gwómuntu bweyabuziddwa nategeeza nga bweyabadde aguleetedde sipiika Kadaga ngékirabo