Amawulire

Palamenti ekakasiza okufa kwómubaka Alupo

Palamenti ekakasiza okufa kwómubaka Alupo

Ivan Ssenabulya

September 15th, 2020

No comments

Bya Kyeyune Moses,

Omubaka omukyala owa disitulikiti yé Pallisa Faith Alupo, kikakasiddwa nti asiza omukka ogwenkomerero, ono ye mubaka owómukaga mu palamenti eye kkumi okufa mu bbanga lya myaka ena gyokka.

Mu balala abafudde mu bbanga lino kuliko eyali omubaka wa Arua  Municipaali, Ibrahim Abiriga, omubaka omukyala owa Moroto Annie Logiel nowé  Iganga Hailat Grace Kaudha, abalala kuliko omubaka William Beijukye Zinkuratiire (Ruhaama County ne  Cyrus Imalingant  owa Toroma County.

Mu kwogera mu lutuula lwa leero omukubiriza wa palamenti, Rebecca Kadaga ategezeza nga entekateeka ezókuziika omubaka Alupo bwe zigenda okulangirirwa mu bwangu

Wabula tayogedde mawulire gakwata kunfaye wabula oluvuvuumo lugamba nti yavudde kirwadde kya covid.

Minisitule eye byobulamu esuubirwa okuvaayo etangaze kunsonga eno