Amawulire

Palamenti bajitutte mu kooti lwa mmere

Palamenti bajitutte mu kooti lwa mmere

Ivan Ssenabulya

January 11th, 2019

No comments

Bya Ruth Andera

Woteeri ya Hellenar’s Restaurant and Bar Ltd ewawabidde kalaani wa palamenti ngeyagala kujiliyirira  obukadde 400, olwokujemera ekiragiro kya kooti kyeyayisa ngennaku zomwezi 21 December 2018 nga ekiriza canteen, okukola ngokuwulira omusango bwekugenda mu maaso.

Mu mpaaba yaabwe aba Hellenar bagambye nti omulamuzi Lydia Mugambe yabadde alagidde palamenti, ebakirize bakole, wabula ekiragiro kyebazimuudde.

Director wa woteeri eno Walter Anywar agambye nti ekyakoleddwa kalaani wa palamenti, okubaimiriza okukola kibaletedde okufiirwa okwamanyi nga kati betaaga obukadde 370 nemitwalo 50, ngengasi ya kooti.

Aba Hellenar’s batanudde okulwanagana oluvanyuma lwokuwa aba Romeo’s Restaurant and Bar Ltd contract.

Wabula aba Hellenar bagamba nti endagaano yaabwe ne palamenti yabadde ekyaliko emyaka 2.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *