Amawulire

Palamanti esabiddwa okunonyereza ku banka ezékobaana n’abafere

Palamanti esabiddwa okunonyereza ku banka ezékobaana n’abafere

Ivan Ssenabulya

April 17th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Amyuka sentebe wa kakiiko ka palamenti akalondoola esasanya ye nsimbi zomuwi womusolo, Okin Ojara ayagala palamenti etandike okunonyereza ku bakungu banka abagambibwa okwekobaana na bayaaye ne bagya ensimbi ku akawunti za bakasitoma nga tebategezebwako

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku palamenti, Okin agambye nti akakiiko ke kafunye okwemulugunya okuva eri Kenneth Oyik ne generali okuva mu South Sudan Noor Akok ababbibwako ensimbi mu mbeera bweti okuva ku akawunti zabw eziri mu Stanbic Bank ne Standard Chartered Bank.

Okin anyonyodde nti Oyik ensimbi ze emitwalo 20 eza doola zakyusibwa ne zisindikibwa mu Cairo Bank mbu kukiragiro kya kkooti kyatamanyiko nga bagamba nti yali abanjibwa Kabonero Green Millers Limited nga yali yerema okusasula bbo kwekuzetolerako

Omubaka Okin agamba nti kino tekikkirizibwa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *