Amawulire

Paapa ow’ebyafaayo

Ali Mivule

March 14th, 2013

No comments

peope blessing

Eklezia Katolika esagambiza oluvanyuma lw’okufuna Paapa omuggya.

Ono y’azze mu bigere bya Paapa Benedict owe 16 ng’amannya ge ye Yozefu Rasinger enzaalwa ya Germany, eyawumudde olw’obukosefu.

Abadde Kalidinaali Jorge Mario Bergoglio enzaalwa ya Argentina, eggulo yalagiddwa namungi w’omuntu eyakungaanidde ku kibangirizi kya St. Peter’s Basilica mu Vatican, enduulu ez’olulekereke nezisaanikira ekifo kyonna.

Lyabadde ssanyu lyokka na kujaganya nga Paapa kati ayitibwa Francis 1ow’emyaka 76 ayogerako eri abantu bano.

Amawulire gano gakulembeddwa omukka omweru ogwabadde gufubutuka mu ki payipu ekyabadde waggulu w’ekizimbe kya Sistine Chappel, ekyalaze nti paapa amaze okulondebwa.

Paapa Francis 1 erinya lino yaliggye ku Francis owe Asis eyakolanga ebyewunyo ng’anzaalwa ya Italy.

Yasabidde Eklezia saako okukubiriza abakkiriza okusabiraganga n’agamba nti alina esuubi nti oluigendo olutandikiddwa lunavaamu ebibala eri eggwanga.

Ekyenjawulo ku paapa ono nti y’asoose okuva ebweru wa bulaaya,ate  musajja wa bulijjo atayagala malidaadi