Amawulire

Paapa asimbudde- Entebbe ssiwakuggalwa

Ali Mivule

November 25th, 2015

No comments

Paapa Francis asimbudde okuva ku kisaawe ky’enyonyi e Fiumicino e Vatican nga kati ayolekedde Kibuga Nairobi mu ggwanga lya Kenya.

Paapa wakumala essaawa 7 mu bbanga nga era wakutukira ku kisaawe ky’enyonyi ekya Jomo Kenyatta International Airport, ku ssawa nga 11 ez’olweggulo.

Paapa awerekeddwako abantu abasoba mu 100.

Okusinziira ku bubaka bweyakawereza eri ssemazinga wa Africa, Paapa y’ategezezza nga bw’ajja mu Africa okwongera amaanyi mu bigendererwa by’ekeleziya n’ebyobwapaapa bwe.

Paapa kati yakagenda mu nsi 11 bukyanga alya bwa paapa ngha era buli w’alaga akoona ku kigambo ky’emirembe, amazima n’okukuuma obutonde bw’ensi nga era asuubirwa okuddamu okukkatiriza bino nga akyaddeko mu Kenya, wano mu Uganda, ne mu Central African Republic.

 

Kkyo Ekisaawe ky’enyonyi ekye Entebbe kyakusigala nga kiggule ku lunaku lwkutaano olunaku paapa lw’atuuka  mu ggwanga.

Okusooka waliwo ebibadde biyitingana nti akisaawe kino kyakugalwa okuva ku ssaawa 10 ez’olweggulo okutuuka ku ssaawa 4 ez’ekiro.

Omwogezi w’ekitongole ky’ebyembuuka z’enyonyi  Ignie Igundura agamba bino ssibituufu.