Amawulire

Owemyaka 8 yandiba ne kkolera, nabe Kiruddu bali mu Kutya

Owemyaka 8 yandiba ne kkolera, nabe Kiruddu bali mu Kutya

Ivan Ssenabulya

January 11th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa, Benjamin Jumbe ne Ndaye Moses

Abasawo ku ddwaliro lye Naguru gyebayawulidde abalwadde ba Cholera, batandise okunonyereza ku mwana owemyaka 8 aleteddwa, nga kisubirwa yakwatiddwa ekirwadde kino.

Minister omubeezi owebyobulamu Dr. Jocy Kaducu ngabadde mu ddwaliro lino, agambye nti akalenzi kano kajiddwa Namboole ku nkingizi za Kampala.

Ono agatiddwa ku balwadde abalal, okuli nomukazi owolubuto olwemyezi 8 okuva mu bitundu bye Kabowa.

Bano bebamu kwabo abakyekebejebea addala okuzuula obanga balwadde.

Ateg’ekirwade kya Cholera kyongera okukwata bannakampala, bo abatuuze abaliraanye eddwaliro ly’e Kiruddu bali ku bwerinde nti akadde konna bandikwatibwa.

Bano obweralikirvu bwabwe buli ku kazambi abayitamu buli lunaku ngava mu ddwaliro.

Mzee John Kalanzi Sendikaddiwa nnanyini kibanja omuggwera kazambi ava mu ddwaliro agamba emirundi gyonna yekubidde enduulu naye tayambiddwa.

Kati abatuuze abaliranye eddwaliro bagamba nti ekya cholera okubalukawo mu kibuga kibongedde obukunkenke olw’akazambi gwebawangaliiramu.

Ekitongole kya KCCA kyeyamye nti kyakumalawo obukyafu, mu kibuga okuyita mu tteeka.

Obweyamu buno bukoleddwa lord Mayor wa Kampala, Erias Lukwago bwabadde atuseeko mu batuuze be Kabowa, awagambibwa nti ekirwadde kya Cholera gyekyatandikidde.

Lukwago eno atongozza mmotoka ezigenda okuyoola kasasiro mu kitundu kino, ngoluvanyuma aganze nemu Ssembuule Zone naggulawo kabuyonjo ya lukale.
Atuseeko nemu maka gaba kawonawo ba Cholera, bebasibudde okuva mu ddwaliro e Naguru.

Wabula agambye nti bagenda kubaga amateeka agenjawulo agagenda okuyitwamu okukuuma obuyonjo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *