Amawulire

Ow’emyaka 70 bamutidde mu nnyumba

Ow’emyaka 70 bamutidde mu nnyumba

Ivan Ssenabulya

July 4th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi mu district ye Kisoro etandise okunonyereza ku butemu obukoleddwa ku namukadd owemyaka 70, bwwayingiriddwa abazigu mu nnyumba mu kiro.

Bino bibadde ky kyalo Gahuru mu gombolola ye Chahi, ng’omugenzi ye Nyirabusaga Vastine ngabadde abeera ne muzzukulu we owemyaka 11 Nyiramahirwe Catherine.

Kigambibwa nti ono abatamanya ngamba bamuyingiridde, nebasiba omwana mu face, nebalyoka batta jajja we, ate yye nebamutaliza.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Kigezi Eli Mate akaksizza ettemu lino.

Omulambo gutwaliddwa mu gwabika lye ddwaliro ekkulu e Kisoro okwekebejjebwa nga nokunonyereza kugenda mu maaso.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *