Amawulire

Ow’emyaka 64 asobezza kuwemyaka 8
Bya Abubakar Kirundsa
Ab’obuyinza mu gombolola ye Baitambogwe mu district ye Mayuge baliko namukadde owemyaka 64 gwebakutte, nga kigambibwanti yasobezza ku mwana owmeyaka 8.
Bino bibadde ku kyalo Nsinda, ngabakulembeze be kyalo bebakulembeddemu okumukwata.
Omu ku bakulembeagambye nti oluvanyuma baakebedde omusajja ono nebasanga ngalina akakwuka ka mukenenya.
Kati bamukwasizza poliisi emuguleko omusango.