Amawulire

Ow’emyaka 50 abbye embuzi

Ow’emyaka 50 abbye embuzi

Ivan Ssenabulya

June 26th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi mu district ye Iganga ebakanye nomuyiggo ku namukadde owemyaka 50, nga kigambibwa nti aliko embuzi 13 zeyabbye.

William Waiswa mutuuze ku kyalo Nampirika A mu gombolola ye Nakalama, wabula kigambibwa nti yabbye embuzi za Muhammad Alileki okuva ku kyalo Bufutula mu gombolola ye Bulamagi.

Ono poliisi ezinzeeko maka age okumukwata wabula nadduka.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi, agambye nti ono baamusanze embuzi yazigalidde munda mu nnyumba ye.

Kati embuzi baziwadde nanyini zo, ngomuyiggo ku mukadde ono bwegugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *