Amawulire

Ow’emyaka 38 asobezza ku mwana wa mwanyina

Ow’emyaka 38 asobezza ku mwana wa mwanyina

Ivan Ssenabulya

October 8th, 2019

No comments

Bya Musasi Waffe

Poliisi ku kyalo Lukango mu gombolola ye Kamengo mu district ye Mpigi eriko omusajja wa myaka 38 gwegalidde, ku bigambibwa nti yasobezza ku mwana wa mwanyina owemyaka 7, ate namusiiga nakakwuka ka mukenenya.

Okusinziira ku mudumizi wa poliisi e Mpigi Joab Wabwire, omwana ono abadde muyizi mu kibiina ekisooka mu ssomero erimu mu kitundu ekyo.

Omusajja yatwaliddwa mu basawo nebamaukbera era nekizuuka nga ddala alina nawokeera wa mukenenya.

Kati omwana yategezezza nga kojja we bwabaddenga amukozesa mu bikolwa ebyomukwano okumala ebbanga, ngamutisatiisa okumutta ssinga anayogera.

Kati agauddwako omusango gwokujjula ebitanajja.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *