Amawulire

Ow’emyaka 29 asobezza kuw’emyaka 8
Bya Ruth Anderah
Omusajja ow’emyaka 29 asimbiddwa mu mbuga z’amateeka navunanwa omusango gw’okwekakatika ku mwana wa mulirinwawe we, ow’emyaka 8 gyokka.
Magezi Docans asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Jane Frances Abodo amusomedde omusango, wabula nagwegaana.
Oluvanyuma omulamuzi amusindika mu kkomera e Luzira yebakayo okutukira ddala nga Octoba lwanakomezebwawo atandike okuwerenemba n’omusango gw’okusobya ku mwana atanetuuka.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Nandaula Lillian lugamba nti omuvunanwa omusango yaguzza nga 27 mu Decemba wa 2017 maama w’omwana bweyali yewungudemu, okuva awaka.