Amawulire

Ow’emyaka 15 abbye abaana okubalya

Ow’emyaka 15 abbye abaana okubalya

Ivan Ssenabulya

September 3rd, 2019

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Poliisi mu district ye Bukomansimbi eriko omuwala ow’emyaka 15 gwekutte ku bigambibwa nti yabadde awambye abaana 2.

Addumira poliisi ye Bukomansimbi Sowedi Manisur agambye nti omukwate yasoose kubba omwana Esther Nannozi owomwaka ogumu, nga yamujje Ku jajja we Roset Nanyonga naddukira e Sembabule nga eno nayo yabbyeyo omwana omulala.

Manisur agambye nti abatuuze e Sembabule beekengedde omuwala ono okubeera n’abaana 2 ku myaka gye, abatuuze ekyabawalirizza okutemya ku police.

Omukwate yategeezezza nti yatumibwa banne okuva e Gayaza mu district ye Wakiso, okujja e Bukomansimbi afuneyo abaana 6 nga okubalya nga balamu.

Omukwate yagambye nti balina group ya Bantu nga 10 nga balya abantu, era basezi.

Kati omukwate akuumibwa ku poliisi e Bukomansimbi, okunonyereza kugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *