Amawulire

Namwama Omugya Alangiriddwa, Okulwana Kuwedde mu Kobe

Ivan Ssenabulya

August 11th, 2017

No comments

MENGO

Bya Shamim Nateebwa

Obwakabaka bwa Buganda bulangiridde Augustine Kizito Mutumba nga Namwama omutaka omuggya ow’ekika kye Kkobe.

Bwabadde alangirira Namwama omugya, Katikkiro Owek. Charles Peter Mayiga asabye abe Kkobe okuwandiika ebyafaayo by’ekika kyabwe bisobole okubeerawo ebbanga lyonna nokubijulizangako.

Owembuga era asabye bazzukulu ba Namwama okubeera obumu okutwala ekika kyabwe mu maaso.

Olunaku lw’enkya Nnamwama omuggya lwagenda okutuuzibwa ku bukulu bw’ekika kino ku butaka bw’ekkobe e Buzimwa, Muduuma Mawokota.

Kinajjukirwa nti Ssaabasajja yawa ensalaye ku musango gw’ekkobe ogwali guludde mu Kkooti ya Kisekwa nga kigambibwa nti Namwama eyaliko yali yalya ensowole.

Maaso Moogi yalagira Magala Kyana ng’ono ye Mutaka ow’olunyiriri lwa kasolya omuva Nnamwama akole enteekateeka y’okufuna Nnamwama omutuufu nga agoberera ennono n’obuwangwa.

Kino kitutte omwaka mulamba nga Kyana ateeka mu nkola ensala ya Beene.

Mu bbanga eryo baakizuula nti Augustine Kizito Mutumba yeyali omutuufu okulya obwa Nnamwama era kwekumwanjulira Katikkiro okukakasa nti baayita mu mitendera emituufu era yoyo omutuufu. Oluvannnyuma lw’okutuuza Nnamwama, Kamalabyonna ajja kumwanjula ewa Ssaabasajja bu bujjuvu.