Amawulire

Owa NRM Salim Uhuru awangudde e Kampala

Owa NRM Salim Uhuru awangudde e Kampala

Ivan Ssenabulya

January 26th, 2021

No comments

Bya Shabibah Nakirijja, Derek Kissa, Barbra Nalweyiso, Malikh Fahad

Abantu bakyakungaanye mu weema, mu bungi wali e Kololo ku tally center, ekifo awabalirwa obululu.

Abamu abakalangirirwa, owa NUP Paul Mugambe alangirirddwa kubwa meeya wa divison ye Nakawa.

Ono awangulidde ku bululu emitwalo 3 mu 2,754 ngadirirrwa owa NRM Buruhan Byaruhanga afunye obululu emitwa 2 mu 671.

Mu gombolola yamasekati gekibuga ekikulu Kampala, owa NRM Salim Uhuru awangulidde ku bululu omutwalo 1 mu 3,114 nadirirwa owa NUP Semugooma Hamdan.

Abadde meeya Charles Musoke Sserunjogi akutte kifo kyakusattu.

Ate ekibiina kya NUP kiwngudde obwa meeya mu divison 2 ezekibuga Masaka.

Mulindwa Micheal Naku-musana owa NUP awangudde mu Nyendo –Mukungwe nobululu 8,357 olvanyuma lwokumegga owa NRM Ntale Godfrey afunye obululu 2,254.

Mungeri yeemu akulira ebyokulonda e Masaka Sam Agaba alangirirdde owa NUP Steven Lukyamuzi ku buwnaguzi mu division ya Kimanya Kabonera ngafunye obululu 9,163 ate owa NRM Hamidu Bukenya afunye obululu 4,308.

Yye akulira ebyokulonda mu disitulikiti ye Mityana Steven Makubuya amakya ga leero alangirirdde Faustin Mukambwe Lukonge nga meeya wa munisipaali ye Mityana omugya.

Mukambwe nga yabadde akutte bendera yekibiina NUP mu lwokaano lwobwa meeya yawangulidde ku bululu omutwalo 1 mu 4,463 nga yawangudde abadde meeya Esther Ndyanabo owa NRM ngono yafunye obululu emitwalo 5,616.

Bwabadde yakalangirirwa, Mukambwe yeyamy okutereza ekibuga Mityana.

Munisipali ye Mityana erina ebifo byaba kansala 28 wabulanga 24 byawanguddwa kibiina kya NUP, aba DP bawangudde 2, aba 1 NRM ne FDC 1.

Mu munisipaali ye Njerumu disitulikiti ye Buikwe, owa NRM yediza ekifo kya meeya bwawangudde abantu 6 beyavuganyizza nabo.

Yasin Kyazze awagudde Junju Azizi atalina kibiina mweyajira.

Kyazze afunye obululu omutwalo 1 mu 2,743 ate Junju Azizi nafuna obululu 9,771.

Mu munisipaali ye Lugazi owa FDC John Bosco Asea etaliko meeya wekitundu ekyo azeemunalondebwa.

Asea awangulidde ku bululu 7,916 ate Deo Tumwesigye nafuna obululu 7,393.