Amawulire

Owa Mobile Money attiddwa mu bukambwe e Masaka

Owa Mobile Money attiddwa mu bukambwe e Masaka

Ivan Ssenabulya

July 7th, 2021

No comments

Bya Malikh Fahad

Poliisi e Masaka batandise okunonyereza kungeri abantu abatanaba kutegerekeka gyebaseemu omukozi ku mobile money, oluvanyuma omulambo gwe nebagusuula kumabbali gekkubo.

Omugenzi ye Joan Nabakibi, ngabadde akolera mu kibuga e Masaka ku Victoria road.

Okusinziira ku Hanifah Nanyanzi, maama w’omugenzi muwala we yabula era abadde amunoonya okuva wiiki ewedde.

Omulambo gwe gusangiddwa mu mwala ku Saaza.

Omu ku batuuze Patrick Kaggwa agambye nti ekikangabwa kino kibakubwe wala.

Omwogezi wa poliisi mu Maserengeta ga Uganda, Muhammad Nsubuga agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.