Amawulire

Owa LDU akubye omuntu namutta

Owa LDU akubye omuntu namutta

Ivan Ssenabulya

November 5th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Owa LDU akubye omuntu amasasai namutta e Kabuusu, ku nkingizi za Kampala wali mu divison ye Rubaga.

Omugenzi ye Jimmy Ssettuba owemyaka 32 ngabadde mutuuze we Makindye.

Eno kigambibwa nti waliwo omukazi omugenzi gwabadde ajjako akasawo era mu kulwanagana omukazi nakubaneduulu, aba LDU nebajja okutaasa.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Patrick Onyango, abakuuma ddembe bawadde omugenzi ebiragiro nayenga tawulira.

Ono ye muntu owokubiri okutibwa aba LDU mu bbanga erya wiiki emu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *