Amawulire

Owa FDC e Kaboongo alabika ssi byaliko

Owa FDC e Kaboongo alabika ssi byaliko

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Steven Ariong

Okulonda kwababaka abakyala mu district ye Hoima ne Kaabong kugenda mu maaso mu bitundu ebisinga.

Mu district ye Hoima okulonda kugenda mu maaso mu bifo ebisinga, okujjako ku Munisipal kanso A-Z.

Omukwanaganya wemirimu gyabalondoozi bebyokulonda wansi wekitongole kya Citizens Coalition for Electoral Democracy in Uganda, Crispy Kaheru atubuliidde nti eno abant bakonkomadde, ebikozesebwa tebinatuuka.

Eno munna NRM Harriet Businge Mugenyi, ali ku mbiranye nowa FDC Asinansi Nyakato, era akutte bendera kulwaboludda oluvuganya gavumenti awamu.

Ate mu district ye Kaabong okuvuganya kuli wakati wa munna NRM Christine Tubo nowa FDC Judith Adyaka.

Eno okulonda nayo kugenda mu maaso mu bifo 130, ebironderwamu ebya district eno, waddenga abalonzi bakyali batono.

Okusinziira ku musasi waffe mu kitundu kino Steven Ariong, abantu beeno bazooka, kulimako, nga kisubirwa nti bakujja okwetaba mu kulonda gyebujjako.

Bbuyo ebikozesebwa byatuuse ku bifo ebironderwamu ku ssaawa 10 mu kiro ekisezza olwaleero.

Owa NRM Tubo yalonze gyebuvuddeko, atenga ebyowa FDC okulonda kwe kuli mu lusuubo, ngono yali yalaga nga bwabivuddemu waddenga aba FDC bakiwakanya.

Judith Adyaka bwatukiriddwa ku ssimu, agambye nti ali walako, era tamanyi obanga analaonda kuba tmanyi na wa wagenda okulondera.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *