Amawulire

Owa bodaboda y’ettuze lw’amukazi

Owa bodaboda y’ettuze lw’amukazi

Ivan Ssenabulya

September 2nd, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu disitulikiti y’e Kisoro etandise okunonyereza, okuzuula kiki ekyavirideko omugoba wa bodaboda okwetuga.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate atubulidde nti omugenzi ye Ndikumaana Joseph ow’emyaka 30.

Ono yasangibwa ku muti ng’alengejja ku kyalo Gahinga mu gombolola ye Nyakabande mu district ye Kisoro.

Wabula kigambibwa nti abadde n’omuwala gw’ayagala ng’asoma wabula olw’amaze okusoma naamutegeeza nga bwafunye omusajja omulala gwagenda okufumbirwa, ekisubirwa nti kye kyamuvirddeko okwetuga.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *