Amawulire

Owa Boda boda bamufumise ekiso, ‘nebamutuga n’ebamutta

Owa Boda boda bamufumise ekiso, ‘nebamutuga n’ebamutta

Ivan Ssenabulya

June 27th, 2019

No comments

Bya Magembe Sabiiti

Poliisi mu district ye Mubende eli kumuyiggo gwa battemu abakidde  omuvuzi wa bodabooda ne bamufumita ekiso n’oluvanyuma nebamutuga nebamutta.

Agaba John myaka 29 abadde muvuzi wa bodabooda ku stage ye Lusalira mu gombolola ye Kibalinga e Mubende abamusse bamupangisizza akawungezi ke ggulo abeko wabatwala wabula bwebatuuse ku kyalo Ngomazamukasa  bamwefulidde nebamufumitta ekiso mu lubuto n’oluvanyuma nebamutuga.

Omwogezi wa police atwala Wamala Region Ochom Nobert ategezezza nga abattemu abase Agaba bwebakozesezza omugwa okumutuga era nga pikipiki ye reg-no UEO-078W bagenze nayo nga kati police etandiise okunonyereza ababadde emabega we ttemu lino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *