Amawulire

Oulanya y’ebaziza ab’e Omoro mu kulwanyisa omuwendo gwa bamaama abafa nga bazaala

Oulanya y’ebaziza ab’e Omoro mu kulwanyisa omuwendo gwa bamaama abafa nga bazaala

Ivan Ssenabulya

October 27th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Jacob Oulanyah atendereza eddwaliro lya gavumenti erya Lalogi Health Centre IV olw’okukola enyo okumalawo ekizibu kya bakyala abafiira mu sanya mu disitulikiti y’e Omoro

Bino yabyogedde awaayo mama kit 300 ne bikozesebwa oluvanyuma lw’okuzaala ebibalirwamu obukadde 60 ku ddwaliro lya Lalogi Health Centre 1V erisangibwa mu disitulikiti y’eOmoro.

Oulanyah agambye nti ab’ebyobulamu mu omoro okusobola okukwasaganya omuwendo gwa bamaama abafiira mu sanya kivudde ku kwewaayo kw’abasawo n’abantu okwaguwa okutuuka mu malwaliro mu biseera by’okuzaala nga kino kireesewo essuubi nti Uganda esobola okulwanyisa embeera eno.

Wabula agamba nti gavumenti yakwongera okusindika ensimbi mu by’obulamu n’okwongera basawo amaanyi kiyambeko okumalawo embeera ya bamaama okufa nga bazaala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *